Yeremiya 8:22
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
22 (A)Teri ddagala mu Gireyaadi?
Teriiyo musawo?
Lwaki ekiwundu ky’abantu bange
tekiwonyezebwa?
Isaaya 47:1
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Babulooni Esalirwa Omusango
47 (A)“Omuwala wa Babulooni embeerera,
kakkana wansi otuule mu nfuufu,
tuula wansi awatali ntebe ya bwakabaka,
ggwe omuwala w’Abakaludaaya.
Ekibuga ekitawangulwangako.
Toliddayo nate kuyitibwa kyatika oba nnalulungi.
Yeremiya 30:13
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
13 (A)Tewali n’omu wa kukuwolereza,
tewali ddagala lya kiwundu kyo, toowonyezebwe.
Mikka 1:9
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
9 (A)Ekiwundu kye tekiwonyezeka,
ne Yuda ky’alwadde.
Kituukidde ddala ku mulyango gw’abantu bange,
ne ku Yerusaalemi yennyini.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.