Yeremiya 47
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Obubaka Obukwata ku Bafirisuuti
47 (A)Kino kye kigambo kya Mukama Katonda ekyajjira nnabbi Yeremiya ekikwata ku Bafirisuuti nga Falaawo tannalumba Gaza nga kigamba nti:
2 (B)Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,
“Laba amazzi agatumbira mu bukiikakkono,
galifuuka omugga ogwanjaala.
Galyanjaala ku nsi
ne mu bibuga byonna ebigirimu n’ababituulamu.
Abantu balikaaba;
bonna abali mu nsi baliwowoggana.
3 Olw’emisinde gy’embalaasi ezidduka
n’okufuumuuka kw’amagaali g’omulabe
era n’okuwuuma kwa nnamuziga,
bakitaabwe tebajja kukyuka kuyamba baana baabwe,
emikono gyabwe gya kulebera.
4 (C)Kubanga olunaku lutuuse
okuzikiriza Abafirisuuti bonna,
n’okusalako bonna abandisigaddewo
abandiyambye Ttuulo ne Sidoni.
Mukama wa kuzikiriza Abafirisuuti
abaasigalawo ku mbalama z’ekizinga Kafutoli.
5 (D)Gaza alimwa omutwe gwe ng’akungubaga.
Asukulooni alisirisibwa.
Ggwe eyasigala mu kiwonvu,
olituusa ddi okwesalaasala?
6 (E)“ ‘Ayi ggwe ekitala kya Mukama Katonda, okaaba,
obudde bunaatuuka ddi owummule?
Ddayo mu kiraato kyo
sirika teweenyeenya.’
7 Naye kiyinza kitya okuwummula
nga Mukama y’akiragidde,
ng’akiragidde
okulumba Asukulooni n’olubalama lw’ennyanja?”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.