2 Samwiri 15:27
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
27 (A)Ate era kabaka n’agamba Zadooki nti, “Toli mulabi? Ddayo mu kibuga mirembe, ne mutabani wo Akimaazi ne mutabani wa Abiyasaali, Yonasaani. Ggwe ne Abiyasaali muddeeyo ne batabani bammwe.
Read full chapter
2 Samwiri 15:36
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
36 (A)Batabani baabwe ababiri, Akimaazi mutabani wa Zadooki ne Yonasaani mutabani wa Abiyasaali nabo bali eyo, era abo boonoontumiranga bwe wanaabangawo ensonga yonna.”
Read full chapter
Yoswa 15:7
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
7 (A)Era n’erinnya ku Debiri okuva mu kiwonvu Akoli, n’egenda ku luuyi olw’obukiikakkono, n’edda e Girugaali emitala w’ekkubo eryambuka ku Adummimu, ekiri emitala w’omugga mu bukiikaddyo, n’etuuka ku nsalo ku mazzi ag’e Ensemesi, n’esala n’ekoma ku Enerogeri. Awo n’eryoka eyita ku kiwonvu kya Kinomu ku luuyi lw’ebugwanjuba ekyali ku nkomerero ey’ekiwonvu kya Lefayimu ku luuyi olw’obukiikakkono.
Yoswa 18:16
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
16 (A)Ate era ensalo n’ekkirira olusozi we lukoma, olutunudde mu kiwonvu kya mutabani wa Kinomu ekiri mu bukiikakkono lw’ekiwonvu kya Lefa, n’ekkirira mu kiwonvu kya Kinomu ekiri mu bukiikaddyo bw’ekibuga Yebusi, n’ekka ku Enerogeri.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.